Amawulire

Poliisi yóbutonde bw’ensi erabuddwa kunguzi

Poliisi yóbutonde bw’ensi erabuddwa kunguzi

Ivan Ssenabulya

May 15th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisita w’amazzi n’obutonde bw’ensi, Sam Cheptoris alabudde poliisi y’obutonde bw’ensi okukomya okwekobaana naabo abefubiridde okusaanyaawo obutonde bw’ensi.

Abadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi ya Pulezidenti mu Kampala mu ssaabiiti eyokwanja ebitukibwako mu bitongole bya gavumenti ebyenjawulo okusinzira ku birubirirwa bya okuva mu mwaka gwa 2022 okutuuka kati.

Cheptolis abikudde ekyama nti enteekateeka zigenda mu maaso mu Minisitule ye okubeera ne poliisi yaayo enzijuvu ku butonde bw’ensi kuba eriwo erina obuzibu omuli obuli bwenguzi na bakozi abatono.

Mungeri yemu minisita alabudde bannauganda okwewala okuyingirira entobazi okwewala amataba agatandise okuwulirwako mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo.