Amawulire

Pulezidenti asuubizza okutunula mu by’emisaala

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

m7 at celebrations

Pulezidenti Museveni ategeezezza nga bw’ali omwetegefu okusisinkana abakulembeze b’abakozi ku nsonga y’omusaala ogusookerwaako

Bw’abadde ayogerera ku mikolo gy’abakozi mu disitulikiti ye Ntungamo, pulezidenti akkirizza nti kitono ky’amanyi ku nsonga eno era nga yetaaga kwongera kukakasibwa ku nsonga eno.

Wabula pulezidenti alumbye abakozi abagayaavu n’abatali besimbu ng’abalumiriza okukosa ebyenkulakulana

Ono era agambye nti n’ebbula ly’emirimu terisobola kuggwaawo okutuuka nga wabaddewo amaanyi mu byobulimi, eby’amakolero n’ebya tekinologiya

Bbo abakiise b’abakozi bagamba nti bakooye okulinda ensimbi ezirina okuweebwa abasomesa ez’obwegassi

Akulira omukago gw’ebibiina by’abakozi ogwa NOTU, Wilson Owere agamba nti kati minisitule y’ebyensimbi bagiwadde ssabbiiti emu okukola ku nsonga eno.

Owere agambye nti abasomesa basobola okweddukanyiza ensimbi zino era nga beebalina okuzikwata sso ssi gavumenti.