Amawulire
Pulezidenti eri abakulembeze b’ennono- mwegatta
Pulezidenti Museveni asabye abakulembeze b’ennono okukozesa obuganzi bwaabwe okugatta abantu mu kifo ky’okubaawuula
Ng’ayogerera ku mikolo gy’okutuuza Kyabazinga William Gabula Nadiope, Pulezidenti agambye nti akimanyi nti obwakyabazinga buliko byebubanja kyokka ng’ebyo bitono byetaaga kuteesa.
Ku ky’okuyooyoota ekitundu kye Bugembe , Pulezidenti agambye nti kino kijja kukolebwa kyokka n’asaba bamuweemu akaseera katono.
Kyabazinga omuggya era amuwadde n’amagezi okulaba nti anyikiza ekolagana ne n’abakulembeze b’ennono abalala
Yye Kyabazinga yeeyamye okuweereza obusoga ne Buganda okutwaliza awamu
Ku mukolo guno era gavumenti ewaddeyo emmotoka enatambuza abakuumi ba Kyabazinga