Amawulire
Pulezidenti Museveni aleke amaka gamu
Akakiiko ka palamenti akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo kagaala pulezidenti ave mu maka ge agamu gaweebwe omumyuka we
Amagezi gano gaweereddwa abakungu okuva mu minisitule ekola ku nsonga z’abakozi abalabiseeko mu palamenti okunyonyola ku alipoota wa ssababazi w’ebitabo bya gavumenti
Ababaka ku kakiiko kano akakulirwa Alice Alaso bagambye nti kikwasa ennaku nti ensimbi za mirundi ebiri ezisasanyizibwa ku maka g’omukulembeze w’eggwanga ate nga yonna tasulayo
Omuwandiisi w’enkalakkira mu minisitule ekola ku nsonga z’abakozi Adah Muwanga agambye nti obukadde 54 eziweebwa amyuka omukulembeze w’eggwanga ez’enyumba zisobola okutaasibwa
Alaso agambye nti minisitule bw’eba eremeddwa okuzimbira amyuka omukulembeze w’eggwanga enyumba, keekadde bamuweeko amaka ge Nakasero.