Amawulire
Pulezidenti Museveni azzeemu okugugumbula abagaba obuyambi
Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni atageezeza nga Uganda kko ne n’amawanga ga Africa gonna okutwalira awamu bwegateetaga buyambi bwabazungu okusobola okukulakulana
Pulezidenti okwogera bino abadde mu lukungaana olwetabiddwaamu enzikiriza ez’enjawulo e Munyonyo, nga n’abalwetabyeemu bavudde mu nsi yonna
Kakati ono agamba nti Africa erina eby’obugagga bingi ebigimala,kale nga ekyetaagisa ye mwana w’omuddugavu okunyikiira okukola enyo okusobola okweggya mu bwavu.
Kakano ono agamba nti Africa esaanye kusubulagana n’amawanga gabeeru sso ssi kubasaba buyambi