Amawulire
RDC akubiddwa amasasi- 90 beebakafa
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti ye Bundibuggyo, Pius Mujuzi akubiddwa amasasi agamulese ng’ataawa.
Omupoliisi y’amukubye amasasi mu butanwa.
Omwogezi w’amaggye mu kitundu kino Ninsiina Rwemizuma akakasizza amawulire gano
Rwemizuma agambye nti Mujuzi abadde ayise mu panya abapoliisi gyebabadde beekweese ate ng’alina emmundu era nga balowoozezza nti yoomu ku balumbaganyi.
Bino nga biri biti gwo omuwendo gw’abakafa e Bundibuggyo gutuuse ku bantu 90