Amawulire

Red Cross eyisizzaawo okulabula eri abantu b’e Kasese

Red Cross eyisizzaawo okulabula eri abantu b’e Kasese

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Ekitongole ekidduukirize ki Uganda Red Cross kilabudde nga abantu abalala bangi n’amaka gabwe bwebali mu kaseera akazibu naddala abo abebulunguludde olusozi Rwenzori mu biseera bino eby’enkuba eyongera okufudemba.

Okusinziira ku kwetegereza embeera okukoleddwa ekitongole kino ekidduukirize, kizuulidda nti ng’ojjeeko abantu 5 abafudde mu byaalo eky’e Kaghema ne Butera mu gombolola y’e  Buhuhiram, abantu abawangalira mu muluka gw’e Kabonera mu gombolola y’e Kyarumba nabo boolekedde okukosebwa ekyenkanyi.

Uganda Red Cross etegeezezza nga ebyaalo ebilala 6 okuli eky’e Kibirigha I, Kibirigha II, Muthambi, Kiitabona , Buthali II ne Kasanzi nabyo bwebyakoseddwa ekibumbulukuka ttaka.

Irene Nakasiita ayogerera Red Cross agamba nti amaka 200 gasula kutebukye, abagasulamu okuva mu maka 40 enkambi kati bagikubye ku eklezia e Kibirigha nga ku gano 26 gasanyiziddwawo.

Nakasiita agamba nti kati okusomooza okuzzeewo by’ebikozesebwa nga n’obuyonjo bwelaliikirizza kuba bonna bakozesa kabuyonjo emu.

Ayongeddeko nga bwewaliwo n’obwetaavu bw’ebikozesebwa okutaakiriza abaana naddala abato nga zi bulangiti okubataasa obunyogovu.

Wabula ategeezezza nga bwebakwataganye n’akakiiko ka district akakola ku bibamba okulaba nga baliko ebimu byebakolako nga bwebalinzeko n’abantu abalala okubakwatizaako.