Amawulire

Sejusa abanja musaala

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

sejusa new

Eyali omukwanaganya w’ekitongole ekikessi mu ggwanga  David Sejusa abanja musaala.

Nga ayita mu bannamateekabe  Michael Mabikke ne David Mushabe, Sejusa agamba kati myaka 2 nga takomba ku musaala nga ate akyaali mujaasi kale nga alina okusasulwa.

Nga ayogerako eri bannamawulire , Mabikke ategezezza nga bwebagenda okuyita mu mateeka babanje omusaala gw’omuntu waabwe kubanga teyadduka mu magye.

Wabula ye ye akola ku nsonga z’abakozi mu magye  Wilson Mbadi ategezezza nga bwebasasula bakolera amagye emirimu okumala ebbanga, wabula sejusa okuva bwekiri nti tabadde ku mulimu, tasaana musaala.

Omujaasi ali ku ddaala lya General asasulwa obukadde bubiri n’ekitundu buli mwezi.