Amawulire
Sejusa akooye okulinda okuwummuzibwa- bannamateeka
Bannamateeka ba Gen David Sejusa bagamba nti amaggye galian ekigendererwa okulemesa omuntu waabwe okuwummuzibwa mu maggye
Omwezi oguwedde, Sejusa yasaba okuwummula okuva mu maggye era n’ategeeza nga pulezidenti Museveni bweyali amukakasizza nti byonna biri bulungi
Munnamateeka wa Ssejusa David Mushabe agambye nti akakiiko akakola ku bawummula kabategeezezza nti tekannafuna ku kiragiro kyonna nti Sejusa alina okuwummuzibwa
Mushabe agamba nti amateeka gawa amaggye ennaku 90 okuwummuza ofiisa aba akooye nga ssinga ziggwaako, bakukwata kkubo ddala.
Yye omu ku basajja ba Sejusa eyakwatibwa olw’okukukuta naye ng’ono ye Bhuto Matovu ategeezezza nga bw’agenda mu kkooti okuwaaba gavumenti olw’okumusibira obwereere