Amawulire

Sijja kusirika-Niringiye

Ali Mivule

February 14th, 2013

No comments

_zac_niringiye_932105592Omusumba Zac Niringiye alayidde obutasirika ku nsonga z’obuli bw’enguzi.

Niringiye abadde azzeeyo ku poliisi ye Wandegeya ku misnago gy’okukuma mu bantu omuliro n’okutambuza ebya kalebule.

Ono agambye nti olutalo nguzi lunene nnyo era nga lwetaaga bantu bagumu nga yye.

Wabula yenyamidde olw’obutaggulwaako misango mu kooti ng’agamba nti kyakutataganya emilimu gye.

Ono alagiddwa kudda nga 18 omwezi guno.

Abadde awerekeddwaako, abakaka Theodre Ssekikubo, Wilfred Nuwagaba, munnamateeka we Daudi Mpanga ne Godbar Tumushabe.