Amawulire
Sipapa addiziddwayo ku alimanda e Luzira
Bya Ruth Anderah,
Omudigize womu Kampala, Charles Olimu amanyiddwa nga Sipapa neera adizidwayo kkomera e Luzira ku misango mukaaga egy’obubbi obw’amaanyi.
Kino kidiridde oludda oluwaabi okutegeeza kkooti nti okunoonyereza ku musango gwe kukyagenda mu maaso.
Mukyala we yali asabye kkooti y’e Makindye emukkirize okweyimirirwa kubanga ye maama kyokka omulamuzi n’awa abafumbo bano amagezi okusaba okweyimirirwa mu kkooti enkulu.
Sipapa ayogerwako nga pulomoota wa bayimbi, omusuubuzi wa Zaabu n’emmotoka avunaanibbwa wamu ne mukyala we Shamirah Nakiyemba.
Bano bakwatibwa oluvanyuma olw’okukozesa eddagala ery’obulabe munnansi wa South Sudan ne bamubbako ebintu omwali ssente, laptop, amasimu, screen za TV n’omusipi ogwa zaabu.
Kigambibwa nti omusango guno baaguzza nga August 29th 2022 e Bunga e Kawuku Gaba.
Kati omulamuzi Patience Ronah Tukundane abalagidde okudda e Luzira okutuusa nga October 10th 2022 ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.