Amawulire

Sipiika agaanye ebyókukyusa ensimbi za bakyala

Sipiika agaanye ebyókukyusa ensimbi za bakyala

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Sipiika wa palamenti Anita Among agaanye ekiteeso kya gavt okukyusa ensimbi ezibadde zirina okugenda mu nsawo ya bakyala okudda mu pulogulamu Parish development Model.

Kino kidiridde minisita avunanyizibwa kunsonga zekikula kyabantu Betty Amongi okutegeeza ababaka nti olukiiko lwa baminisita lwalagidde obuwumbi bwensimbi 32 ezibadde zirina okuba eza bakyala okwekulakulanya zidde mu pulogulamu ya Parish development Model.

Among wabula kino akiwakanyiza nasaba ensimbi zino zidde munsawo yazo ate zongerweko.

Era alagidde minisita we byensimbi okuvaayo okutangaza lwaki ensimbi zino zakyusibwa.