Amawulire

Sipiika akangudde eddoboozi ku bisiyaga mu masomero

Sipiika akangudde eddoboozi ku bisiyaga mu masomero

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Sipiika wa palamenti Anita Among alagidde akakiiko k’ebyenjigiriza okunoonyereza ku bikolwa by’ebisiyaga mu masomero era baveeyo ne alipoota mu palmenti.

Kino kiddiridde omubaka wa Kazo county, Dan Kimosho okutegeeza ababaka ku mawulire agafulumira ku mikutu gya yintaneeti agakwata ku bantu ssekinnoomu n’abasomesa abagambibwa okuyingiza abaana b’amasomero mu bikolwa eby’ebisiyaga.

Among avumiridde ebikolwa bino ng’agamba nti gavumenti tesobola bikkiriza mu ggwanga.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyenjigiriza, Abigaba Cuthbert agumizza ababaka ba palamenti nti bakuvaayo ne alipoota eyamangu bajanjulire ababaka mu wiiki ejja.

Mu mboozi ey’akafubo ne KFM omwezi oguwedde, ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku kulondoola eby’obuseegu, Dr Annette Kezaabu, yakakasa nti abaana bamassomero basendasendebwa mu bisiyaga nga balina emiganyulo nga sikaala nókubapokera omusimbi.