Amawulire

Sipiika akangudde ku ddoboozi eri ababaka abeebalama entuula

Sipiika akangudde ku ddoboozi eri ababaka abeebalama entuula

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Sipiika wa Palamenti Anita Among alagidde offiisi ya Parliament ekwatibwako okutandika okuwa ababaka abayitirizza obutatula mu nteesa za Parliament amabaluwa agabalamu.

Ono ela asabye ba sentebe b’obukiiko mu bwangu okuuwereza amannya g’ababaka abatatuulayo n’oluvanyuma basalewo bano eky’okubakolera.

akangudde ku doboozi nategeeza nga bwagenda Kiddiridde Speaker okulaga obutali bumativu olw’omuwendo gw’ababaka ba Parliament abagufudde omugano obutatuula mu nteesa za Parliament ng’ate gwe mulimu omukulu ogwabalonza.

Mukwogerako eri Parliament enkya ya leero, ono ategeezezza nga ababaka abebulankanya entuula za Parliament omuwendo gwabwe bwegugenda gweyongera wadde ng awaze wabeerawo okulaburwa okw’emilundi egy’enjawulo.