Amawulire
Sipiika alagidde minisita ku musaala gw’abasoma obusawo
Bya prossy Kisakye,
Sipiika wa palamenti Anita Among, awadde minisita ow’ebyobulamu ebisookerwako Margaret Muhanga omulimu gw’okuleeta obujulizi olunaku lw’enkya ku palamenti obulaga nti baasasudde mu bujjuvu abasawo abatendekebwa ensako yaabwe gye babadde babanja.
Ekiragiro kya sipiika kiddiridde minisita okulaga nti gavumenti yasasudde ensako y’abasawo abatendekebwa era nti babalagidde nokukomya akeediimo kaabwe mu bwangu ababaka kye baawakanya.
Omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Mathias Mpuuga Nsamba n’omubaka wa Buikwe south Lulume Bayiga bategeezezza ababaka nti minisita agezaako okulimba palamenti bwebaategeeza nti olwaleero boogeddeko n’abasawo abatendekebwa era ne babagamba nti tebannafuna ssente yonna okuva mu gavumenti.
Kino kiwalirizza sipiika okulagira minisita okulabikako enkya n’obujulizi obulaga nti abasawo abatendekebwa basasuddwa gavumenti.