Amawulire

Sipiika alemeddeko ku byékivvulu kya NyegeNyege

Sipiika alemeddeko ku byékivvulu kya NyegeNyege

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Sipiika wa palamenti Anita Among agamba nti palamenti tegenda kwekyusa okuva kukusalawo kwayo ku kivvulu kya Nyegenyege ekigenda okubeera e jinja mu ssabiiti ejja.

Ono okwogera bino nga enkya ya leero Ssaabaminisita Robinah Nabanja ytevumbye akafubo na bakulu kunsonga eno

Palamenti Lwokubiri yayimiriza ekivvulu kino ngegamba nti kitumbula ebikolwa ebyobusegu mu ggwanga kyokka gavumenti ng’eyita mu ssaabaminisita neyangirira ngekivvulu kino bwekigenda okubaawo wakati mu kugoberera amateeka ne biragiro.

Kati nga asinzira mu lutuula lwa leero sipiika agambye nti yadde gavt eremeddeko bbo tebagenda kukkiriza kivvulu kya nyegenyege kubaawo ku lwobulungi bweggwanga.

Kino kidiridde omubaka wa Rwemiyaga county Theodore Sekikubo okuleeta okwemulugunya mu maaso ga babaka nga awakanya ekyakolebwa ssabaminisita okukkiriza ekivvulu kibeewo bwategezeza nti kwabadde kubayisaamu lya ngege