Amawulire
Sipiika yenyamidde ku bubenje bwókunguudo obumalawo abantu
Bya Ben Jumbe ne Nalwooga Juliet,
Sipiika wa palamenti Anita Among alaze obweraliikirivu olw’abantu abagenda mu maaso n’okufiirwa abantu ku nguudo z’eggwanga.
Bwabadde aggulawo olutuula olw’enjawulo okusiima omugenzi omubaka wa Palamenti e Serere Patrick Okabe, sipiika agambye nti kya nnaku nti eggwanga likyagenda mu maaso n’okufiirwa bannansi buli lunaku olw’obubenje ku nguudo wadde nga waliwo okulaajana okuwerako.
Agamba nti waliwo obwetaavu obw’okugonjoola ekizibu kino ng’asaba wabeewo enkola enkakali eri abavugisa obulagajavu.
Mungeri yemu Minisita avunaanyizibwa ku by’amawulire nokulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi alabudde abavuzi b’ebidduka obutavuga bubi mu sizoni eno ey’ennaku enkulu.
Bino abyogedde mu lutuula olw’enjawulo olw’okusiima omugenzi, omubaka wa Palamenti owa Serere Patrick Okabe, eyafiiridde mu kabenje ne mukyalawe ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi.
Baryomunsi agamba nti obukuumi ku nguudo butandika n’empisa eri bavuzi b’ebidduka.