Amawulire

South Africa yakukungubagira Tutu okumala wiiki

South Africa yakukungubagira Tutu okumala wiiki

Ivan Ssenabulya

December 27th, 2021

No comments

Egwanga lya South Africa ligenda kukungubaga okumala wiiki nnamba, okujjukira Ssabalabirizi Desmond Tutu, eyafudde olunnaku lweggulo ku myaka 90.

Ono ajjukirwa nnyo, yoomu ku baali ku mwanjo okulwnayisa obusosoze, nokubukomya mu gwanga lino.

Bingi ebigenda okukolebwa mu bbanga lino, ebinakulemberamu okuziika nga 1 January mu kibuga Cape Town.

Obubaka bukyayiika nga mazzi, okuva mu bakulembeze abanjewulo nga bakungubagira omugenzi.

Kuno kuliko obubaka obuvudde ewomutukuvu Paapa Francis, obuvudde ewomukulembeze wegwanga lya America Joe Biden, okuva ewa Nabakyala wa Bungereza Elizabeth II nabalala.

Ono ye mukulembeze abadde asing okumanyika ebweru wegwanga, okufananako nomuegnzi Nelson Mandela.

Desmond Tutu naye yawangula engule yemirembe, eya Nobel prize mu 1984.

Okufa kwa Tutu kwagoberedde okwa FW de Klerk, eyafiira ku myaka 85, ngono ye mukulembeze omuzungu eyasembayo okukulembera egwanga lino.