Amawulire
South Sudan efuumudde abagwiira
Eggwanga lya South Sudan lifuumudde abagwiira bonna abakolera mu ggwanga lya South Sudan.
Muno mulimu ne bannakyeewa ng’emirimu gyonna gigenda kuddamu bantu baabwe okuva nga 15 omwezi ogujja.
Okusinziira ku mukutu gwa AFP, gavumenti ya South Sudan mu kiwandiiko ky’efulumizza etegeezezza nga kino bwekikoleddwa okuwa bannansi emirimu
Mu bagobeddwa era mulimu abakola mu mabanka, mu kkampuni z’obwa nnanyini, ebyempuliziganya,mu wooteri, loogi n’ebirara
Ebitongole byonna ebirina abagwiira biragiddwa okuddamu okulanga emirimu abaana enzaalwa bagitwaale
Bino nno bigenda mu maaso nga South Sudan akyali mu mbeera mbi era ng’abakugu balabudde dda ku njala eyolekedde eggwanga lino
Bannayuganda abasoba mu kakadde kalamba beebakolera mu South Sudan naddala mu kibuga ekikulu Juba
Tugezezzaako okwogera n’omwogezi wa gavumenti Rosemary Namayanja kyokka nga atugambye talina ky’amanyi ku nsonga eno
Mu disitulikiti ye Moyo embeera ekyaali yabunkenke oluvanyuma lw’abatuuze okuddamu okwekalakaasa lwankaayana za ttaka n’aba South Sudan.
Omubaka wa pulezidenti mu kitundu kino John Abingwa agamba waliwo ekibinja ky’abavubuka abakedde okwegugunga nebookya ebipiira mu makkati g’enguudo mu tawuni ye Moyo.
Olunaku lw’eggulo abeekalakaasi nga bakulembeddwamu ssentebe wa disitulikiti Jimmy Vukoni baakoze effujjo nebookya ennyumba 15 ssaako n’ekanisa y’abalokole nga eno ya bananasi b’eggwanga lya South sudan,
Abingwa obuzibu bwonna abutadde ku bannabyabufuzi abakuma omuliro mu bantu.
Obwegugungo buno bujidde mu kiseera nga abatuuze b’eMoyo bakaayanira ettaka ly’okunsalo eyawula Uganda Ku south Sudan mu disitulikiti eno.