Amawulire
Batambuzza ekkubo ly’omusaalaba
Bya Mike Sebalu. Abakulembeze b’enzikiriza ez’enjawulo wamu n’abagoberezi baabwe abali eyo mu bikumi n’ebikumi, bakungaanidde ku ssomero lya Old Kampala SS okukuza olunaku lw’ekkubo ely’omusaalaba.
Olunaku luno, lutandise n’okutambuza ekkubo ly’omusaalaba okuva mu bifo eby’ejawulo okwetoloola ensonda ez’enjawulo ez’ekibuga Kampala.
Okuva ku Lutikko e Rubaga, Ssaabasumba w’essaza ekkulu elya Kampala Paul Semwogerere y’akulembeddemu bano.
Ono awerekeddwako abantu ab’ebiti eby’enjawulo okubadde Minister w’ensonga z’ekikula ky’abantu Betty Amongi, Minista Omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye, ababaka aba Parliament n’abalala.
Okuva ku All Saint Church e Nakasero, Ssaabalabirizi Samuel Stephen Kazimba Mugalu y’akulembeddemu okutambuza ekkubo ly’omusaalaba n’okuwerekerwako abagoberezi abalala bangi.
Okuva ku Lutikko y’omutukuvu Petero e Nsambya, Msgr Charles Kasibante yakulembeddemu bano era asabye bonna abamwegasseeko okubeera abasaale okulwanyisa ebikorwa eby’obuli bw’enguzi.
Ekkubo ly’omusaalaba era lyegatiddwako e Kkanisa yaba Orthodox e Namungoona n’abantu abalala bangi bano nga bakungaanidde butereevu ku kifo awategekeddwa okusaba okw’awamu e Kampala Mukadde.