Amawulire
Ssaabasajja Kabaka ayagala olutalo ku mukenenya obutaruddiliza
Bya Mike Sebalu. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asabye abantu be obutaddiriza mu lutalo lwebaliko olw’okumala mukenenya omwaka 2030 wegunatuukira.
Buno bubadde bumu ku bubaka bwe bw’abadde alabiseeko eri Obuganda, okusimbula emisinde gy’amazaalibwa ge egikedde okubeera mu Lubiri e Mengo.
Emisinde gino gitolontose okwetoloola ebitundu ky’e Kibuga eby’enjawulo wakayti mu namutikwa w’enkuba eyakedde okutonnya.
Omutanda ategeezezza ng’Obwa Kabaka bwebulina ekigendererwa eky’okufuula emisinde gino egikwata ekisooka mu nsi yonna ng’egyo egibeerawo mu bibuga nga Newyork, London, era bwatuyo n’asaba okugenda mu maaso okweyongera obungi nga bakola ku nsonga z’obulwadde obwa siliimu.
Agambye nti olutalo lwa siliimu lukulu nnyo nga abantu be betaaga okubera abalamu nga bamanyi n’engeri gyebasobola okwekuuma n’okulabilira bannabwe abasangiddwa n’obulwadde buno.
Emisinde gy’omulundi guno egy’omulundi ogw’e kkumi (10), bagiddukidde wansi w’omulamwa ogw’okumalawo mukenenya omwaka 2030 wegunatuukira.