Amawulire

Ssaabasajjja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda

Ssaabasajjja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda

Ivan Ssenabulya

April 5th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri obuganda ku Sande nga 16 /04 bw’anaaba agenze okusimbula emisinde gy’amazaalibwa ge mu Lubiri e Mengo.

Emisinde gino gyakutandika ku ssaawa 12 kumakya nga kw’olwo n’abaami ba Ssaabasajja wonna mu massaza bwebanaawuubira abaddusi abatasobole kujja mu Lubiri e Mengo.

Okusinziira ku kiwandiiko ekitongole ekivudde mu offiisi ya Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga,  abantu abatanafuna mijoozi gyakuddukiramu bakubiriziddwa okugifuna obunambiro.

Ssaabiiti ewedde, Ssabasajja yakomyewo ku butaka oluvanyuma lw’okukulungula enzigu eziwerako emitala w’amayanja ng’ali ku mirimu emitongole wamu n’okumwekebejja embeera y’obulamu bwe.

Olw’olugendo olwo, omutanda teyasobola kwetaba ku mipiira gy’amassaza egy’akamalirizo wamu n’egy’ebika egyategekerwa mu kisaawe e Wankulukuku.