Amawulire

Ssabapoliisi esabiddwa okuyingira mu nkayana zéttaka e Kireka

Ssabapoliisi esabiddwa okuyingira mu nkayana zéttaka e Kireka

Ivan Ssenabulya

December 2nd, 2023

No comments

Bya Prosy Kisakye,

Ssaabaddumizi wa Poliisi Martins Okoth Ochola, asabiddwa okuyingira mu nkayana z’etttaka wakati wékitongole kya police nábatuuze mu muluka gwé Kagugube e Kireka okutudde enkambi ya poliisi.

Bweyabadde alambuddeko abatuuze bé Kivuli Zone 1, mu muluka gwe Kagugube abalumiriza poliisi okubasengula kuttaka lye bamazeeko emyaka ne bisiibo ne tteekawo enkambi, Minisita avunanyizibwa kunsonga z’byokwerinda mu ggwanga, Kahinda Otafiire, yategezeza nti ssaabaddumizi wa poliisi kimugwanidde okuyingira munsonga zino.

Mu sabiiti ewedde Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago, yakulemberamu abatuuze bano na batwala mu kakiiko akalwanirira eddembe lyobuntu era Ssentebe waako Mariam Wangadya yasuubiza okwetegereza ensonga zabwe ababuulire ekidaako.

Kati ono naye yabawadde amagezi baddukire mu kkooti basobole okuvfuna obwenkanya.