Amawulire

SSabasajja asiimye okukyalako e Buluuli

Ali Mivule

February 4th, 2015

No comments

Kabaka waves

Ssabasajja kabaka asiimye okukyalako mu ssaza lye erye Buluuli nga 23 omwezi gw’okutaano

Bino byogeddwa katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga bw’abadde ayogerako eri nasisi w’omuntu akungaanye okusonda ettofaali

Katikkiro agambye nti ssabasajja Kabaka ayagala nnyo abantu be ab’omu Buluuli era asiimya okubalabako.

Okulangirira kuno kuzze wakati mu kwemulugunya okuva mu baluuli abamu nti tebali wansi wa Buganda nga bagezezzaako okulemesa enteekateeka za kamalabyonna okugenda mu ssaza lino.

Bbyo eby’okwerinda ebikuliddwa akulira ebikwekweto Andrew Felix Kaweesi bisiibye binyweevu nga n’ababadde bagenda okwekalakaasa balemeseddwa poliisi eyabagugumbuludde

Obukadde obusukka 15 bwebwakasondebwa abantu ba ssabasajja kabaka abe Buluuli