Amawulire
Ssabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda olunaku lwenkya
Bya Prossy Kisakye,
Ssabasajja kabaka asiimye okulabikako eri obuganda olunaku lwenkya era wakwogera eri obuganda nga asinzira mu lubiri lwe e Mengo wakati mu kufundikira emikolo egyabulungi bwansi nokukuza amefuga ga Buganda agabeerawo buli nga 8th October every year.
Olunaku luno lutera okukuzibwa mu ssaza eriba riwangudde mu mpaka ezokla obulungi emirimu egikulakulanya obwakabaka.
Era omwaka guno Kyaggwe lyelyawangula wabula emikolo tegitwalibwayo.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire e Bulange Mengo, Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, atangaazizza nti omwaka guno ebikujjuko bya Bulungi Bwansi tebigenda kubeerako bantu bangi olw’ekirwadde kya Ebola ekyabalukawo mu ggwanga.
Agambye nti obwakabaka butegese okuwa ebirabo ESSAZA Kyaggwe, nga 24th October okwawukanako n’enkola ebaddewo nti essaza eriwangudde reweebwa ekirabo ku lunaku lwa Bulungi bwansi.