Amawulire

Ssabasajja atandise emikolo gya leero

Ali Mivule

January 28th, 2014

No comments

Kabaka in ntenjeru

Ssabassajja asimbudde okuva mu lubiri lwe ku ssaza e Ntenjeru gyeyasuze.

Ayolekedde olusuku lw’agenda okulambula olwaleero nga tannatongoza kyuuma kya mwaanyi e Busaana.

Ayambadde suuti ya kitaka n’ettaayi ya kitaka.

Olunaku olwaleero Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ayingidde olunaku olw’okubiri ng’alambula essaza lye erye Bugerere.

Olunaku olw’eggulo namungi w’omuntu yayanirizza omutanda okwabadde bannabyabufuzi abakulembeze be Kayunga n’abalala bangi wakati mu mizira n’embuutu okuvuga.

Beene yakulembeddemu okugema abaana n’okulambula ebintu abantu be mu ssaza lino byebatuuseko era webwazibidde nga bangi bakyayoya kukuba liiso ku mutanda.