Amawulire

Ssabawolereza Nyombi ajereze bannamateeka

Ali Mivule

December 18th, 2014

No comments

nyombiii

Ssabawolereza wa gavumenti atabukidde abakulira ekibiina ky’abannamateeka  mu ggwanga lwakwagwala kumulemesa mulimu gwe oluvanyuma lw’okumusaba alekulira nga bagamba emirimu gimulemye  wabula kkooti n’egoba okusaba kwabwe.

Bannakibiina bano  baawalawala Nyombi okutuusa mu mbuga z’amateeka nga balumiriza nga bwasusse okuwabya gavumenti nga agiwabula ekifuulanenge ku nsonga z’amateeka nga era baamuvumirira ku ky’okuwabula omukulembeze w’eggwanga okuddamu okulonda Benjamin Odoki ku bwa ssabalamuzi bw’eggwanga wamu ne Gen Aronda Nyakayirima ku bwa minisita w’ensonga z’omunda w’eggwanga.

Kati bwabadde ayogerako eri bannamawulire ,  Nyombi  atadde akaka n’alangira  abakulira ekibiina kino obutamanya kyebakola nga baagala okumweyimbamu ky’agamba nti buli kimu kyali kimenya mateeka.

Mungeri yeemu akulira ekibiina kino Ruth Sebatindira akkirizza nga bwewaaliwo ensobi ezakolebwa.