Amawulire

Ssabawolereza yeefudde

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

nyombi thembo

Ssabawolereza wa gavumenti wakujjawo okujulira kweyakoze olunaku lwajjo ku tteeka eriwera ebisiyaga

Kkooti yalagira nti etteeka lino lyayisibwa mu bukyaamu era lisazibweemu kubanga abaliyisa baali tebawera

Olunaku lwajjo yawaddeyo okujulira ng’agamba nti ebyasalibwaawo kkooti bikyaamu ekintu ekyalabise ate okukosa kawefube w’ababaka okuddamu okuyigga emikono

Ng’ayogerako eri bannamawulire, Nyombi agambye nti agenda kujjayo okujulira okusobozesa ababaka okuddamu okuyisa etteeka kubanga omuwendo bagulina

Nyombi era agambye nti pulezidenti yataddewo akakiiko akakulirwa omumyuka we Edward Kiwanuka Ssekandi okwongera okwetegereza ebikwata ku tteeka lino