Amawulire

Ssebuufu ajjulidde ku kibonerezo

Ssebuufu ajjulidde ku kibonerezo

Ivan Ssenabulya

July 2nd, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Muhammad Ssebuufu,Nnanyini kibanda kya motooka ekya pine  eyaweredwa ekibonerezo eky’okusibwa emyaka 40 lwa kutta Donah Katushabe  olw’aleero ajjulidde  nga yita mu bannamateeka be Caleb Alaka ne  Evans Ochienge.

Olunaku lwajjo ,Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala, Flavia Angelin Ssenoga yavuddeyo naasalira Muhammad Ssebuufu, Godfrey Kayizzi, Phillip Mirambi, Yoweri Kitayimbwa, Damaseni Ssetongo, Paul Tasingika ne Shaban Odutu ekibonerezo kyakusibwa emyaka 40 lw’akutta Donah Katushabe .

Emyaka 20 lwa kuwamba Donah wabula nga ebibonerezo by’ombi bya kutambulira wamu saako n’okuliyirira obukadde 100 ab’oluganda lwa Donah Betty Katushabe gwe batta olw’ebbanja lya bukadde 9 nga 21 – October – 2015.

Omuwaabi wa Gavumenti Winfred Ahimbisibwe yavuddeyo nategeeza kkooti nti abawawabirwa bonoonye obudde bwa kkooti bungi wamu n’ensimbi mu musango guno.

Katushabe yaggibwa mu maka ge ku ssaawa 3 ez’okumakya natwalibwa ku Pine mu Kampala gye yatulugunyizibwa wamu n’okuswazibwa okutuusa ku ssaawa 11 ez’olweggulo bweyataasibwa naafiira mu kubbo nga bamutwala mu ddwaliro