Amawulire

Ssembabule ne Wakiso zifunye eddagala erigema ekirwadde kya Covid

Ssembabule ne Wakiso zifunye eddagala erigema ekirwadde kya Covid

Ivan Ssenabulya

March 11th, 2021

No comments

Bya Malik Fahad ne Prossy Kisakye,

Nga kawefube owokugema abantu ekirwadde kya covid-19 agenda mu maaso disitulikiti ye Sembabule afunye doozi zeddagala 3520

Okusinzira ku mukwanaganya wentekateeka eno mu disitulikiti Justine Nanyonjo, bataddewo ebifo 10 awagenda okugemebwa abantu

Bano bakusinzira ku Lwemiyaga health center iii and Ntusi, Lwebitakuli ne Matete ne walala

Mungeri yemu Disitulikiti ye Wakiso ewereddwa doozi z’eddagala ezisoba mu mitwalo esatu ely’okugema ekirwadde kya ssenyiga omukambwe okulaba nga kikendezebwa mu bantu.

Bwabadde akwasibwa eddagala lino amyuka akulira abakozi mu district ye wakiso Jude Mark Bukenya, yebaziza gavumenti okuvaayo ne balowoozaako okubawa eddagala era neyeyama nga bwebagenda okulikozesa obulungi eri abantu nga babagema.