Amawulire
Ssente zo’kulwanyisa COVID-19 obuwmbi 373 zijja wiiki ejja
Bya Damalie Mukhaye
Minisita webyensimbi Matia Kasaija ategezezza nga gavumenti bwegenda okufulumya ssente wiiki ejja, obuwumbi 373 eri entekateeka zokulwnayisa ssenyiga omukambwe.
Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku Media Centre, Kasaija agambye nti ku ssnte zino obuwumbi 206 mu obukadde 400 zigenda kuweebwa minisitule yebyobulamu, obuwumbi 50 zidde eri ebyokwerinda, 54 n’obukadde 700 ze ssente ezigenda okugabibwa ku masimu gabantu.
Ate ssente obuwumbi 53 nobukadde 700 eri minisitule ya gavumenti ez’ebitundu, songa obuwumbi 8 nobukadde 100 zigenda kuweebwa minisitule ya sayansi ne tekinologiya.
Agambye nti minisitule yali etesetese okusaba enyoingereza ya buwumbi 600 kulwentekateeka zokulwanyisa COVID-19 wabula mu kiseera kino minisitule yebyensimbi erinawo obuwumbi 373.
Agambye ntissente zino tebagenda kuzewola naye baakusala ku mbalirirra yebitongole ebirala.
Ssente ezisigaddeyo mu kulwanyisa ssenyiga omukambwe obuwumbi 227, agambye nti baakuzifuna oluvanyuma.
Mungeri yeemu, olukiiko lwaba mininisita lukakasazza ebibinja byabantu 16 abali mu bwetaavu abagenda okuganyulwa mu ntekateeka ya gavumenti, okufuna ku ssente.
Bwabadde ayogera ne bananwmulire ku Media Center, minister wekikula kyabantu Betty Amongi agambye nti amaka emitwalo 50 mu 1,107 mu bibuga okuli Kampala nezi munispaali bebagenda okuweebwa ku ssente zino, nga bakuweebwa emitwalo 10.
Kuno kuliko abagoba ba baasi, aba takisi, aba boda boda, abaisndika ebigaali, abetikka emigugu, abalungamya ebidduka mu kibuga, abakola mu mabaaka, ba kanayama oba baouncers, ba DJ nabalala.
Abalala kuliko abakola mu gym, abasabaza emmere ku masowaani, abakola muzi saluuni, abatunga enagatto nabasomesa abatali ku lukalala gavumenti kwesasaulira.
Agambye nti awamu abantu akakadde 1 bebagenda okuganyulwa mu nkata eno.