Amawulire
Ssentebbe wa UMA omugya awabudde bannamakolero
Bya Juliet Nalwooga
Ssentebbe omugya owabanamakolero omugya wansi waUganda Manufacturers Association (UMA) nga ye Deo Kayemba asomoza amakampuni okutunuliira ennyo ebyobulimi, agamba nti lyekkubo erijja okuyamba ebyenfuna okudda engulu okuva mu kabi ka ssenyiga omukambwe.
Kayemba yagenda okudda mu bigere bya Barbara Mulwana agambye nti Uganda yaweebwa omukisa nembeera yobudde ennungi, kulwebyobulimi era awabudde nti kino bannamakolerero kyebasaanye okutandikirako bakikozese ngomukisa.
Agambye nti agenda kuteeka amanyi mu kunyweza enkolagana nabekitongole kya Public Procurement and Disposal Authority.
Kayemba yakulira emirimu ku East African Roofing Systems Ltd era abadde amyuka ssentebbe wa UMA okuva mu mwaka gwa 2017.