Amawulire

Ssentebbe wabakyala yesse

Ivan Ssenabulya

January 24th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Nzirango mu gomolola ye Namaremba mu disitulikiti ye Namutumba bwebasanze akulembera abakyala ku kyalo nga mufu.

Omugenzi ye Getrude Babirye ngabadde mutuuze ku kyalo kyekimu atenga abadde mukulembeze.

Ssentebbe wekyalo kino Patrick Muyinda agambye nti omugenzi yasoose kuwaayo ssente zabadde atereka mu kibiina kyabakyala, nategeeza banne nga bwabadde aliko gyagenda atenga agenda kulwayo akabanga.

Bba w’omugenzi agambye nti yamulese mu nnyumba nga talina buzibu, wabula bamutegezezza oluvanyuma ng mukyala we bwabadde afudde.

Abakulebeze ku kyalo basabye abatuuze bakomye emize gyokwetunganga naye banoonye engeri yokugonjolanga okusomozebwa kwebafuna.