Amawulire
Ssentebe awonye okugajambulwa lwa kizindaalo
Amyuka wa Ssentebe wa district ye Mukono Musa Kigundu awonedde watono okugajambulwa abatuuze b’okukyalo Kyetume mu gombolola ye Nakisunga lwakizindaalo ki mukalakaasa.
Abakungu bano okugwa ku kyokya, babadde mu lukiiko lwe kyalo oluyitidwa okugonjoola enkayaana ezibaddewo ku kizindaalo kino wakati wa nanyinikyo , n’ eyaliko kansala we kitundu kino Babra Nalubwama.
Olukiiko lutandise bulungi era abatuuze abasinga nebalaga obwetaavu bwe kizindaalo kino, naye ekibajje mu mbeera, ye mumyuka wa Ssentebe Kigundu abadde awa ensalaye ku nsonga eno okutegeeza nga bw’ayimiriza mbagirawo okubulira enjiri ku kizindaalo kino okujjako ebirango byoka.
Abatuuze ababadde b’etimbye ebipande ebivumirira abataagala njiri, kwekumwambalira era neyezooba nabo okumala akaseera , okutuusa ab’ebyokwerinda bwe bamutaasiza n’asobola okwemulula mpola.