Amawulire
ssentebe Mapenduzi ye ssentebe esinze omwaka guno
Alipoota erambika enkola ya gavumenti ez’ebitundu eyabuli mwaka giyite local government score card efulumzidwa , nga eraze nga gavumenti zino bwezikolera ddala obulungi, naddala mu kukwatagana n’abantu babulijjo
Alipoota eno eyakoledwa ekitongole ekya ACODE eraze nga ssentebe wa disitulikiti ye Gulu Martin Ojara Mapenduzi bwakize banne mu kukola obulungi, sso nga ye ssentebe wa disitulikiti ye Kamuli Salam Musumba akutte kyakubiri.
kuno okunoonyereza kwakolebwa mu district 30 kwezo 136 eziri mu Uganda
Mungeri yeemu yye minisita akola ku govumenti ez’ebitundu Adolf Mwesige azeemu okutegeeza nga govumenti bw’egenda okubakwatizaako mukukola ku by’enguudo
ono agamba nti bategesse okwongeza ku mutemwa ogugenda mu govumenti z’ebitundu nga gwakukola ngudo, era nga kino bakukitukiriza nga bakendeeza kwezo ezitekebwa mukitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda National Roads Authority.
kinajukirwa nti omwaka gwebyensimbi 2014/2015, UNRA yaweebwa obuwumbi 146 bwogerageranya n’obuwumbi 136 ezaasasanyuibwa mu district 112 .