Amawulire
Taata bamusibye emyaka 30 olw’okusobya ku baana be
Bya Malikh Fahad
Kooti enkulu e Masaka esindise omusajja ow’emyaka 39 mu kkomera yebakeyo emyaka 30 olw’okusobya ku bawala be, okuli ow’emyaka 9 n’owe 14.
Abud Nyenje nga mutuuze we Lwabaswa mu bizinga bye Kalangala asingisddwa emisango 2 okuli okusobya ku batanetuuka nokusinda omukwano nabaana beyezaliira, amawano gennyini.
Kino kidiridde omuvunanwa yye kennyini okukiriza omusango mu maaso gomulamuzi Dr. Winfred Nabisinde.
Omuwaabi wa gavumenti Amina Nkasa ategezezza kooti nti ono baamusanga lubona, ngakakanye ku muwala we owemyaka 14 mu kikolwa ekyomukwano, era omwana nategeeza nti taata yali akikoze enfunda eziwera.
Omulamuzi avumiridde ekikolwa kino nagamba nti kyabuswavu nnyo atenga mawano gennyini.