Amawulire

Taata w’Oulanya agamba mutabani we bamuwadde butwa

Taata w’Oulanya agamba mutabani we bamuwadde butwa

Ivan Ssenabulya

March 21st, 2022

No comments

Bya Basasi Baffe

Taata w’omugenzi Jacob Oulanyah, nga ye Nathan Okori agambye nti mutabani we, teyafudde nfa eyabulijj.

Agamba nti yandiba nga bamuwa butwa, obwamuviriddeko okufa.

Okori bino yabitegezezza abaziisi, ababadde bakunganidde ku butaka mu disitulikiti ye Omoro, nga yagambye nti amauwlire ssi malungi.

Yagambye nti Oulanyah bamuwa butwa era byonna ebinayogerwaoluvanyuma, binaababigenda kubuzabuza.

Yagambye nti olumbe olwamusse lwatandika okweyoleka, okuva lweyafuuka sipiika wa palamenti.

Wabula agambye nti gyebuvuddeko yamukubirako essimu, nabaako byamusbiza.

Wabula teyanyonyodde baani ddala emabega wokutta mutabani we, Jacob Oulanyah era lwaki.

Yye minisita webyamawulire Dr Chris Baryomunsi yasambazze amawulire gobutwa, nagamba nti egwanga lyakutegzebwa alipoota enaaba evudde mu kwekebejja omulambo.

Ababaka mu palamenti ey’omulundi ogwe 11 baakulonda omukubiriza wa palamenti, mu lutula olunaskera ddala, oluvanyuma lwokufa kweyabadde sipiika Jacob Oulanyah.

Kino kirambikiddwa mu nnyingo eye 82(4) aka ssemateeka wegwanga, ngenyonyola nti tewali kiyinza kugenda mu maaso awatali Sipiika.

Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni yakaksizza okufa kwa Oulanyah, ngono yafiridde mu Seattle mu kibuga Washington mu gwanga lya America gyabadde ajanjabirwa.

NRM basubirwa nti bebajja okusigaza ekifo ekyo, kubanga bebasinga obungi mu palamenti.

Oulanya yayingidde mu byafaayo bya Uganda, ye sipiika akyasinze okuwereza ebbanga ettono, kinajjukirwa yamyuka Sipiika okuva mu May wa 2011 okutukira ddala mu May wa 2022, weyalondebwa okufuuka sipiika ajudde, ngadda mu bigere bya Rebecca Kadaga.

Okusinziira ku tteeka lya parliamentary pension’s amendment act 2011, sipiika nomumyuka we batekeddwa okufuna okuzika okytongole okwa gavumenti, nga babakubira n’emizinga 17.

Mu tteeka lino, omusaala gwabadde afuna 30% zikozesebwa mu kuziika omugenzi, gavumenti erangirira okukungubaga kwegwanga nemirongooti negyewubira mu masekati gemirongooti.

Ababaka b’ongedde okukungubagira Jacob Oulanya, bamwogeddeko ng’omubaka wa palamenti omumanyi, Uganda gwetagenda kumla gazzaawo.

Bino byogeddwa omubaka wa munisipaali ye Kiira Ibrahim Ssemujju Nganda, ngagambye nti byeyateesa ku nsonga za gavumenti okutunda banka yegwanga, Uganda Commercial Bank tebijja kwerabirwa.

Ssemujju, kinajjukirwa nti yagobwako mu palamenti mu mwaka gwa 2013, ku biragiro byeyali amayuka sipiika ebiseera ebyo Jacob Oulanyah.

Bino byaliwo Ssemujju bweyagaana okwetonda, olwokusiwuuka empisa, wabula agamba nti kyannaku omwaka tegwaweze nga plamaneti eri wansi wobumanyi bwe nga sipiika wa palamenti.

Oulanyah abadde mubaka w’essaza lye Omoro ekisangibwa mu disitulikiti ye Omoro.

Amyuka sipiika wa palamenti Anita Among akungubaze, agambye nti omugenzi abadde musoesa we, era gwebayigirako ebintu bingi.

Among, yasinzidde Muyenga mu maka gomugenzi Jacob Oulanyah e Muyenga, nagamba nti abadde akola nnyo okulaba nga Mukama we, assuuka naye tekyasobose, Mukama yamujuludde.

Agambye nti yali mu kattu, kubanga yalwaza mutabani we, bweyali mu lugendo okwolekera mu America naye nasalawo obutadda mabega.

Among, mu kunyolwa okungi yakulukusizza amaziga.

Mungeri yeemu ababaka abava mu kitundu kya Acholi nabo bakungubagidde Jacob Oulanyah.

Ssentebbe wakabondo kababaka abava mu kitudu kino, Anthony Akol omugenzi yamwogeddeko ng’omuntu abadde omusanyufu era ayagala nokufaayo ku nsonga zabantu.