Amawulire

Tayebwa akubye ebituli mu kiteeso kya Govt okugula amasanyalaze okuva e Kenya

Tayebwa akubye ebituli mu kiteeso kya Govt okugula amasanyalaze okuva e Kenya

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2022

No comments

By prossy Kisakye,

Amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa akubye ebituli mu kiteeso kya gavumenti okugula amasannyalaze okuva e Kenya n’ategeeza nti Uganda erina obusobozi okuba na masanyalaze agamala olwa megawati 1,378 ezikolebwa wano nga ku zino eggwanga likozesa megawati ezitakka wansi wa 1000.

Bino abyogedde ayogerako eri ababaka ba palamenti akawungeezi ka leero era awadde akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku butonde bw’ensi n’ebyobugagga eby’omu ttaka omulimu gw’okunoonyereza ku dizayini ezaakolebwa ku bbibiro ly’e Isimba ezigambibwa okuba nti zakolebwa mungeri yagadibe ngalye.

Ono awadde minisita w’eby’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu ttaka, Ruth Nankabirwa omulimu gw’okunnyonnyola ku kulabula okwayisibwa okulaga nti eggwanga lyakuberako mu kibululu.

Ku Lwokubiri, Minisita Nankabirwa yategeezezza nti gavumenti yabadde ya kutandika kuleeta masannyalaze okuva e Kenya okusobola okusasula ekitundu ku bbula ly’amasannyalaze erya Megawatt 183 erivudde ku kyuma kya Isimba okuggalwa mu bwangu.