Amawulire
Temulinnyisa Bisale
Abagoba ba taxi balabudde ku kuwanika ebisale by’entambula.
Kiddiridde baasi za pioneer okuggyibwa ku makubo olw’amabanja gebalian eri ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue authority.
Aba taxi bagufudde mugano ng’olunaku lwaleero enguudo zonna ezibaddeko baasi ebisale byongezeddwa
Abe Luzira obwedda basasula shs 2500 okuva ku lukumi lwebalina okusasula ate nga e Bweyogerere nayo obwedda basaba 2000 mu kifo ky’olukumi.
Akulira ba dereeva bano Mustafa Mayambala agamba nti kikyaamu okwongeza ebisale kubanga kijja kwekyaaya abantu bajulire baasi.