Amawulire
Temumala budde, tulonze Museveni- Babaka
Bannakibiina kya NRM abagaala okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga ku bendera y’ekibiina bandiba nga baloota
Ababaka ba palamenti aba NRM abatudde e Kyankwanzi balabudde abo bonna abagaala okwesimbawo obutamala budde wabula bawagire pulezidenti Museveni
Kino kizze nga bano bakamala okwekolamu omulimu okusaba nti pulezidenti addemu okwesimbawo.
Omwogezi w’akabondo k’ababaka ba NRM, Everln Anite agamba nti abakulu bonna abayinza okwesimbawo balagiddwa okugira nga balinda pulezidenti amaleko ekisanja ky’okutaano.
Anite agamba nti okunoonya omuntu omupya okukwata bendera kyandiyawula mu kibiina ate nga kyebasinga obutayagala.
Ababaka abawerera ddala 190 beebamaze okussa omukono ku kiwandiiko ekiwagira pulezidenti museveni okuddamu okukwata bendera y’ekibiina