Amawulire

Temuyiwa musaayi kukyuusa bukulembeze

Ali Mivule

December 2nd, 2014

No comments

semwogerere

Abavuganya basaanye okwewala okukozesa amakubo g’okuyiwa omusaayi mu kawefube w’okuleetawo enkulakulana mu ggwanga.

Obubaka buno buvudde eri eyali senkaggale wa DP Paul Kawanga Ssemogerere bw’abadde ayogerako eri ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti ku palamenti olwaleero.

Semwogerere agambye nti abavuganya babadde beekalakaasa ekintu ekikosa emirimu gy’abalala n’okuyiwa omusaayi ekintu ekitali kituufu.

Agamba nti Uganda terina kudda mu nnaku za kuyiwa musaayi mu kawefube w’okukyuusa obuyinza.