Amawulire
Temuzzaamu bayizi bibiina
Minisitule ekola ku by’enjigiriza mu ggwanga eragidde abakulembeze b’amasomero okukoma okukaka abayizi okudda mu bibiina
Minisita w’ebyenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti kino kyekisinze okukyayisa abaana ebitabo nga n’abasinga batuuka n’okudduka ewaka
Alupo agamba nti abayizi beetaga nebaba nga bayita buyisi olwo lwebafuna amaanyi agasigala nga basoma.
Yye omuwandiisi w’ekitongole eky’ebigezo, Mathew Bukenya agamba nti ekivaako abayizi okugwa ebigezo butategeera bibabuuzibwa
Ono agamba nti abayizi bangi bababuuza birala nebaddamu birala kale ng’amasomero gasaanye okwongera okubangula abayizi ku ngeri y’okuddamu ebigezo
Ku nsonga y’abaana abawala okukola okusingako abalenzi, Bukenya bw’ati bw’ategeezeza