Amawulire
Temwanika buziina
Kamalabyonna wa Buganda oweki Charles Peter Mayiga asabye abantu bonna balina enkayaana mu bika byaabwe okukoma okuyomba mu lujjudde
Kiddiridde ab’ekika ky’empewo okwemulugunya ku mannya agatuumibwa nti gakozesebwa n’ebika ebirala
Bino katikiro abyogedde akwata ettofaali okuva eri ababantu abatali bamu abaleese ensimbi eziwerera ddala obukadde 80 n’obusawo bwa ceminiti bitaano.
Mayiga agambye nti ssabasajja Kabaka y’atondawo ebika era omuntu alina owkemulugunya aba alina kukuyisa mu butongole sso ssi kuyomba kubanga olwo aba alumba omutanda
Mu ngeri yeemu katikiro asiimye abakyala b’agamba nti buli kyebakwatako tekigaana