Amawulire
Temwawula mu disitulikiti
Gavumenti esabiddwa okusooka okwetegereza ensonga y’okutondawo disitullikiti empya okulaba oba ddala zeetagisa
Ssabbiiti ewedde, ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku gavumenti z’ebitundu bawagidde eky’okukutulamu disitulikiti ye Wakiso, Kibaale, Kabale, Arua ne Kasese.
Kati akulira ekibiina ekigatta gavumenti z’ebitundu Fred Gume agamba nti disitulikiti empya zoolese okubeera omugugu kubanga n’ezasemba okukutulwaako tezikola bulungi.
Gume agamba nti eky’okutuusa empereeza y’omulembe ku bantu tekikola nga disitulikiti tezisobola kweyimirizaawo