Amawulire

Teri ajja kulemesa Mbabazi- NRM

Ali Mivule

December 11th, 2014

No comments

Mbabazi on seat

Ab’ekibiina kya NRM bawakanyizza ebigambibwa nti balina enteekateeka eziremesa ssabaminista w’ekibiina Amama Mbabazi okwetaba mu ttabamiruka ku bbalaza ya ssabbiiti ejja

Akola nga ssabawandiisi w’ekibiina Richard Todwong agamba nti abo bonna abanaayita mu kasengejja okuli ne Mbabazi bakwetaba mu ttabamiruka ate era bakubaganye n’ebirowoozo.

Todwong wabula agambye nti bakitegeddeko nti waliwo abaweereza obubaka ku masimu nga bakunga abantu okugenda okutataaganye ttabamiruka ono.

Todwong agamba nti kino kiyinza obutasoboka kubanga ab’obuyinza bonna bamaze okubategeezaako nga tebagenda kukkiriza kavuyo konna.