Amawulire

Teri kuva South Sudan-Pulezidenti Museveni

Ali Mivule

February 7th, 2014

No comments

museveni and mbabaz

Pulezidenti Museveni agamba nti amaggye ga Uganda gakusigala mu ggwanga lya South Sudan

Amaggye gano gabadde ku ludda lwa gavumenti ya South sudan okulwanyisa abayekeera abakulirwa Riek Machar

Ng’ayogerera mu lusirika lw’ababaka ba NRM olwaleero, pulezidenti asekeredde abasaba mu amaggye gaveeyo ng’alumiriza nti miriraanwa gya Uganda girina okuba nga gitebenkedde olwo ne wano wabeewo emirembe

Mu ngeri yeemu era pulezidenti ebibiina by’obufuzi abiwadde amagezi kunyweeza emiramwa gyaabwo olwo lwebinafuna emirandira

Pulezidenti agamba nti ebibiina tebirina kutambulira ku bukyaayi na kwetemamu olwo lwebinanyweera