Amawulire
Teri kuwandiika ku Namwandu wa Kasiwukira- KKooti
KKooti eweze bannamawulire okuwandiika ku namwandu wa Kasiwukira Sarah Nabikolo mu ngeri ettatana erinya lye ku musango gw’okutta bbaawe ogukyawulirwa mu kkooti.
kino Kiddiridde omukyala ono okwemulugunya mu kkooti nti waliwo empappula z’amawulire ezamusingisa edda omusango okusinziira ku ngeri gyeziwandiikamu amawulire.
Nga ayita mu munnmateekawe MacDusman Kabega, Sarah Nabikolo yewunya lwaki kkooti ne poliisi tebafuddeyo ku biwandiikibwa bino.
Mungeri yeemu omuwaabi wa gavumenti Beatrice Odong asabye nti oludda oluwaabi luweebwa emyezi 4 okufundikira okunonyereza kwabwe ku musango guno ogw’okutomera Kasiiwukira.
Abaakwatibwa ku by’okufa kwa Kasiiwukira kuliko Nanmwandu Sarah Nabikolo, mugandawe Sandra Nakungu ssako n’omuserikale wa poliisi Ashraf Dedeni nga bano bongeddwayo ku alimanda okutuusa nga 11th of February 2015.
Kasiwukira y’atomerwa mmotoka eyabulawo bweyali akola duyiro okuva mu makaage e Muyenga nga 17th October omwaka oguwedde.