Amawulire
Teri kwongera maggye ssente
Emirimu mu kakiiko akakola ku by’okwerinda gyesibye okumala kumpu ssaawa bbiri namba oluvanyuma lw’abakulu mu gavumenti okusaba nti bannamawulire bagobwe mu kakiiko.
Abakulu bano okubadde amyuka ssabawolereza, Fred Ruhindi n’oweby’okwerinda Jeje Odong bategeezezza ng’ebimu ku byebamanyii bwebabadde batasobola kubitegeeza babaka nga bannamawulire bawulira
Kino kiwakanyiziddwa ababaka Semuju Nganda ne Kaps Hassan Fungaroo abategeezezza ng’ensonga eno bw’eri enkulu mu ggwanga nga tebasobola kugoba bannamawulire kubanga ensonga zoogerwaako nkulu eri bannayuganda.
Oluvanyuma lwa kumpi ssaawa 2 nga bezooba, akulira akakiiko Bena Namugwaanya asazeewo nti bannamawulire basigale abakulu n’abawa amagezi okusirika bwebalaba nga byebababuuza tebasobol akubyogera.
Mu kusooka, ab’oludda oluvuganya ssibakukkiriza ggye lya UPDF kwongerwa nsimbi za lutalo mu South Sudan.
Kino kiddiridde ssabadumizi w’amaggye Gen Katumba Wamala wiiki eno okutegeza nga essaawa yonna bwebayinza okusaba palamenti ebongere ku nsimbi zibayambe mu Lutalo lwe South Sudan.
Minister w’ebyokwerinda mu gavumenti y’ekisikirize Kaps Hassan Fungaroo agamba kino ssibakukikiriza.
Ono era atadde abakulu mu maggye ku ninga baveyo n’omuwendo gw’abajaasi abakafira mu lutalo lwe south Sudan n’asambajja eby’abajaasi 9 abakafiira mu lutalo luno nga amaggyue bwegategezezza.