Amawulire

Poliisi yegaanye okukwata Mumbere- Besigye ayogedde

Ali Mivule

July 11th, 2014

No comments

Namaye

 

Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye avuddemu omwaasi ku butabanguko obuli mu disitulikiti ye Bundibuggyo ne Kasese.

Agamba nti obuzibu bwonna buvudde kukuyingiza byabufuzi mu bitundu n’okwagaala okukutula mu mawanga.

Ng’ayogerako eri bannamawulire ,Besigye agambye nti ekitundu kye Rwenzori kirimu entalo nyingi nga kyaali kikyaamu gavumenti okwongera okukitemamu ng’etikkira omukulembeze wa ba Bamba.

Ono agamba nti nga tewali kikoleddwa kugatta bantu mu kifo ky’okubaawula,entalo zino zakugenda mu maaso.

Bino bibadde bikyaali biti, poliisi n’esambajja engambo nti Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere akwatiddwa.

Kino kiddiridde amawulire okutandika okuyitingana nti Mumbere akwatiddwa era n’aggwalirwa mu bugwanjuba bw’eggwanga.

Mu kiwandiiko ekifulumizibwa amyuka omwogezi wa poliisi Polly Namaye, poliisi etegezeza nga bwetanayita mu Mumbere wadde okumukwata.

Wabula ekiwandiika kitegezeza nga Mumbere bwatali wagulu w’amateeka era poliisi bwenamwetaaga wakuyitibwa ebitebye.

Mu ngeri yeemu Namaye ategezeza nga Katikiro wa Rwenzururu, Noah Nzaghale, minisita w’ebyobulambuzi,wamu n’abazirwanako bwe abakwatiddwa olunaku lwajjo era nga bakyaali mu mikono gyaabwe