Amawulire
Tewali munnayuganda akoseddwa mu South Sudan
Bannayuganda abali mu ggwanga lya Suoth Sudan tebaliiko buzibu bwonna.
Minista omubeezi akola ku nkolagana ya Uganda n’amawanga amalala, Asuman Kiyingi agamba nti ekitebe kyaabwe mu South sudan tekinnafuna mawulire gakwata ku muntu yenna kub eera ng’akoseddwa
Kiyingi agamba nti gavumenti yakusigala nga yetegereza embeera nga bw’etambula okulaba nti tewabaawo munnayuganda akosebwa
Bbo abasuubuzi bannayuganda abakolera mu ggwanga lya Sudan basabiddwa okwesamba ebifo omuli okulwanagana okusobola okwekuuma nga balamu.
Omubaka john ssimbwa nga ono atuula ku kakiiko akakola ku by’obusuubuzi mu palamenti agambye nti eggwanga lino terinnatebenkera era ng’abaliwo balina okwegendereza
Bino webigyidde ng’abajaasi abawagira eyalia myuka omukulembeze w’eggwanga lino Riek Machar balwanagana n’amaggye ga gavumenti.